Munnamawulire Tamale Mirundi atabukidde abakyala mu ggwanga abegumbulidde okusasaanya obuseegu.

Mirundi bw’abadde ku NBS TV mu Pulogulamu ‘ONE ON ONE WITH TAMALE MIRUNDI’ agambye nti mu byalo, tewali mukyala yenna ayinza kufungula sikaati okukiriza omuntu yenna okumulaba akabina kyokka bangi mu Kampala bakisobola bulungi nnyo.

Mu kwogera kwe, Mirundi anokoddeyo omuyimbi Sheebah Kalungi nti y’omu ku bakyala abasiinga okunama mu Uganda era y’emu ku nsonga lwaki balemeddwa okufuna obufumbo.

Mu Uganda, abantu abenjawulo bavuddeyo ku nyambala ya Sheebah Kalungi era kinajjukirwa nti ne Minisita W’empisa n’obuntu bulamu Rev. Father Simon Lokodo yateekawo akakiiko akenjawulo okunoonyereza ku bantu abanjawulo abasasaanya obuseegu nga bayita mu ngeri ezenjawulo omuli enyambala ne vidiyo n’okusingira ddala abayimbi.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •