Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, adduukiridde abantu mu ngeri y’okujjaguza amazaalibwa ge.

Bobi Wine yazaalibwa nga 12, Febwali, 1982, era enkya ya leero, asazeewo okudizza ku bantu mu kujjaguza okuweza emyaka 37.

Bobi Wine nga yegatiddwako mukyala we Barbie Itungo Kyagulanyi, omubaka wa Munisipaali ye Mityana Francis Zzaake n’abantu abalala, batwalidde abalwadde ku ddwaaliro lya Kasangati Health Centre IV n’ebintu ebyenjawulo omuli ensawo z’obuwuunga ne sukaali, ssabuuni, paadi n’ebintu ebirala.

Mu ngeri y’emu balambuddeko abali mu bwetaavu mu kifo kya Sister with blister Uganda mu bitundu bye Lubya era nayo, babatwalidde ebintu ebyenjawulo, ekiwadde abantu essanyu.

 


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •