Omugagga Medard Kiconco atabukidde omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ne banne ku nsonga z’ettaka lye Lusanja – Kasangati.

Sabiti ewedde Bobi Wine yakulemberamu babaka banne omuli omubaka wa Mityana munisipaali, Francis Zaake, Kawempe North  Latif Ssebagala n’abalala ne batwala ebintu ebyenjawulo omuli amabaati, abatuuze b’e Lusanja okusobola okuzaawo amayumba gabwe.

Wabula omugagga Kiconco agamba nti kyewunyisa ensonga z’ettaka lye, okuziyingizaamu ebyobufuzi era yewunyiza ababaka ba Palamenti abategeera ensonga z’amateeka ate okulemberamu okugamenya.

Medard Kiconco
Medard Kiconco

Agamba nti ababaka ba Palamenti bakimanyi bulungi nti ensonga z’ettaka ziri mu kkooti kyokka baalagidde abatuuze okuddamu okuzimba.

Kiconco agamba nti singa abatuuze balemwa okutambulira mu mateeka, amayumba gabwe bayinza okuddamu okugamenya.

Wiiki ewedde agambibwa okuba nnyini ttaka lino  Kiconco yazzeyo mu kkooti okusaba kkooti eyise ekiragiro ekikugira omulimu gwonna okuddamu okukolebwa ku ttaka lino nga balina okulinda ebinaava mu musango ogwasooka okuwaabwa ku nsonga y’obwananyini ku ttaka eryo.

Abatuuze abasukka mu 350 abaamenyerwa amayumba agawera 160 omwaka oguwedde ogwa 2018 mu October kyokka mu kiseera kino abamu bazeemu okuzimba.