Omuyimbi Fik Fameica ne munne Pai Pounds bakoze obumodi mu kukwata vidiyo y’oluyimba byompa olugenda okufulumizibwa essaawa yonna.

Mu mukutu ogwa Instagram, Pai Pounds ataddeyo ebimu ku bifaananyi bya vidiyo kyokka abamu ku bantu bawadde endowooza zabwe.
Abamu bagambye nti Fameica yawonye okukubwa kuba singa yasembeza omukono gwe ku mubiri gwa Pai Pounds, yabadde alina okwanukula ebimu ku bibuuzo okuva eri omukulu Eddy Kenzo.

Mu Uganda, abantu balina eddembe buli omu okwogera, era omwaka 2017 bangi ku bannayuganda bategeeza nti Kenzo ne Pai Pounds baagalana kyokka tewali muntu yenna alina bujjulizi ku nsonga eyo.

Kimanyiddwa nti wadde abantu bakoze kyonna ekisoboka okwogerera abayimbi ebigambo ebyenjawulo, bangi basigadde ku mulamwa gw’okuyimbira abantu era y’emu ku nsonga lwaki Uganda erina omuyimba Eddy Kenzo eyawangula Award ya BET.

Mu kiseera kino, Fik Fameica y’omu ku bayimbi abatava mu mawulire ku nsonga ezenjawulo kyoka wadde abantu bamwogeddeko ebigambo ebyenjawulo, akulaze nti ali ku mulamwa era alina kolabo ne muyimbi munne Pai Pounds.

 

View this post on Instagram

Something cute loading 92%…..

A post shared by Pia (@pia_pounds) on