Mu nsi y’omukwano, buli kintu ekikolebwa kiyamba nnyo  okugumizza omukwano mu baagalana.

Mu mbeera eyo, Omutanzaniya Diamond Platnumz akoze buli kimu okusanyusa muganzi we Tanasha Donna Oketch.

Tanasha akolera ku laadiyo mu ggwanga erya Kenya kyokka buli wikendi, abeera mu ggwanga erya Tanzania okulya obulamu ne bba Platnumz.

Platnumz akoze ebintu ebyenjawulo okuwa omukyala essanyu kuba buli wikenda amutwala mu bifo ebyenjawulo okumusanyusa omuli ku Beach, kasino ne bbaala ennene.

Zari, Platnumz ne Tanasha
Zari, Platnumz ne Tanasha

Okusinzira ku ssenga Nakamya mu kibuga Kampala, Platnumz akola buli kimu okulumya Zari Hasan wadde amulinamu abaana.

Mungeri y’emu agambye nti Zari alina emyaka 38 ate Platnumz 29, ekiraga nti baali tebakwatagana mu  ndowooza kuba omukyala yali mukulu nnyo ku musajja, era y’emu ku nsonga lwaki yafunye Tanasha ali mu myaka gye.

Ssenga Nakamya era agambye nti Zari alina okuggya Platnumz mu birowoozo bye kuba omusajja akyakola ebintu ebyenjawulo ne Tanasha oba n’abakyala abalala okwongera okumunyiza.

View this post on Instagram

More Money More stupidity!!!

A post shared by Chibu Dangote..! (@diamondplatnumz) on