Omuyimbi Rema Namakula ayatulidde bba Eddy Kenzo amazima ku nsonga y’okubezaawo amaka ge amalungi nga temuli kuyombagana.

Rema agamba nti Kenzo alina okusalawo wakati we ne mikwano gye kuba akooye okuyisibwamu amaaso.

Bangi ku bannansi bakimanyi nti Rema y’omu ku bakyala abasirise kyokka agambye nti akooye mikwano gya Kenzo awaka.

Rema agamba nti wadde Kenzo ayagala nnyo mikwano gye, balina kumusanga kw’offiisi oba situdiyo, amaka galina okuweebwa ekitiibwa.

Bw’abuuziddwa lwaki akulembeddemu okugoba abantu ba Kenzo, Rema agambye nti awaka ayagalawo famire yokka n’abeng’anda zaabwe kyokka alemeddwa okuwa ensonga lwaki akooye mikwano gya bba.