Omuwala Tanasha Donna Oketch alina engeri ezenjawulo z’okukyamula bba Diamond Platnumz n’okulaga nti y’omu ku bawala abatuufu abagwanidde okudda mu bigere bya Zari Hassan.

Mu kiseera kino Tanasha ali mu mukwano ne Platnumz era mbu batekateeka mbaga yabwe.

Mu ggwanga erya Kenya, akola ku laadiyo kyokka mbu buli wikendi abeera mu ggwanga erya Tanzania ne bba okunyikiza omukwano n’okunyumya akaboozi.

Wabula abamu bantu ku mitimbagano omuli Face Book, Instagram n’emirala bagamba nti Tanasha ayambala bulungi nnyo, alina obugoye obusikiriza abasajja ate muwala mulungi era y’emu ku nsonga lwaki yawangula omutima gwa Platnumz.

Abalala bagamba nti obugoye bwa Tanasha busabbalaza abasajja bangi nnyo omuli ne bba Platnumz era kyongedde okumwerabiza Zari n’abawala abalala.