Kyaddaki Poliisi evuddeyo ku nsonga z’okukwata mukyala w’omugagga Sulaiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga, Vivian Angella Chebeti Mbuga.

Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ekikessi mu poliisi, Vincent Ssekate, Vivian baamukutte ku misango gy’okutambuza ssente mu bumenyi bw’amateeka,

Vivian avunaanibwa n’abantu abalala omuli bba SK Mbuga ne Muhammad Mbabali atannakwatibwa.

Vincent Ssekate
Vincent Ssekate

Ssekate agamba nti okukwata Vivian, kyaddiridde kkampuni ya bannamateeka eya Boman’s Law Firm okugenda ku poliisi e Katwe n’eggulawo omusango ku fayiro GEF 133/2018 nga bavunaana SK Mbuga, Vivian ne Mohammad Mbabali okwekobaana ne bafera omuzungu Stein Heinson obukadde bwa ddoola 6 nga bamulimbyelimbye okumuguza zzaabu okuva mu Uganda.

Kigambibwa Boman’s Law Firm, okutwala omusango ku poliisi, baali bakolera ku biragiro bya kkampuni y’e Sweden eya Einor Matson AB, Group of Companies. Omuzungu Stein Heinson gwe baafera kuba ye nannyini kampuni.

Omukyala Vivian yakwatibwa sabiti ewedde ku Lwakuna nga 14, Febwali, 2019 nasooka akuumirwa ku poliisi y’e Katwe oluvannyuma gye yaggyiddwa ku Lwokutaano n’atwalibwa ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli okukola sitetimenti.

Mu kiseera kino SK Mbuga bamuggye mu kibuga Dubai, yatwaliddwa mu ggwanga erya Denmark ku misango gy’okubba ssente.