Omubaka we Makindye West Allan Ssewanyana akwattiddwa enkya ya leero bw’abadde ayolekera okusisinkana abatuuze b’omu kitundu ku nsonga ya kazambi ku ddwaaliro e Kiruddu.

Abatuuze abawangalira okumpi ne ddwaaliro bagamba nti kazambi akulukuta okuva ku ddwaaliro asukkiridde okubalemesa okutambuza emirimu olw’ekivundu ssaako n’okulwala ebirwadde omuli embuto.
Abatunda eby’okulya, bagamba nti olwa kazambi abaguzi bayongedde okwesala ekyongedde okunyigiriza obulamu bwaabwe.

Mu mbeera eyo, Omubaka Ssewanyana yabadde asuubiza okusisinkana abatuuze n’abasuubuzi enkya ya leero, okubaganya ebirowoozo ku nsonga ya kazambi n’okuyimusa eddoboozi lyabwe eri bekikwatako mu Gavumenti kyokka Poliisi emulemeseza era nakwatibwa.

Okusinzira ku Poliisi, olukungana terubadde mu mateeka era y’emu ku nsonga lwaki akwattiddwa.

Kinnajjukirwa okuva omwaka oguwedde ogwa 2018, abatuuze okumpi n’eddwaaliro e Kiruddu, abazze beemulugunya ku nsonga ya kazambi akulukutira mayumba gabwe ekivudde endwadde okubalumbagana