MC Kats omukozi ku NBS TV alangiridde omuyimbi omulala gw’agenda okuyamba okudda mu bigere bya Fille Mutoni abadde mukyala we.

MC Kats abadde bba wa Fille era balina omwana ate nga manejja we mu kisaawe ky’okuyimba kyokka mu kiseera kino bafunye obutakaanya ng’abaagalana ne bawukana.

MC Kats bw’abadde ku Sanyuka TV ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero, agambye nti ye alina omutima oguyamba abayimbi era wadde Fille yagenze, alina abayimbi abalala.

Shammy K
Shammy K

Agamba nti mu kiseera kino alina omukyala Shammy Kalule amanyikiddwa nga Shammy K era alina akayimba Class gw’agenda okuzza mu bigere bya Fille okuyambako okutumbula talenti ye mu kisaawe ky’okuyimba.

Oluyimba lwa Shammy K