Kyaddaki MC Kats abikudde bannayuganda amaaso ku myaka gy’omuyimbi Fille Mutoni oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya wakati waabwe.

MC Kats bw’abadde ku Sanyuka TV ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero, agambye nti Fille alina emyaka 28, mukazi mukulu era buli kyakola simwewunya.

Mungeri y’emu agambye nti mu kiseera kino tayinza kuddamu kukwasaganya Fille nga manejja we mu by’okuyimba kuba alina omusajja omulala.

MC Kats ne Fille
MC Kats ne Fille

MC Kats era agambye nti wadde ye ne Fille balina obutakaanya, mwetegefu okumwesonyiwa mpolapola, okusobola okutambuza emirimu gye wadde mu kiseera kino ali mu kaseera kazibu nnyo.

Wabula okusinzira ku mutimbagano gwa yintanenti, Fille yazaalibwa nga July 25, 1991.