Olukiiko olufuzi mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM) olwa Central Executive Committee (CEC), luyisiza ekiteeso, ssentebbe w’ekibiina kyabwe era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuddamu okwesimbawo mu kulonda kwa 2021 nga tavuganyiziddwa mu kamyufu k’ekibiina.

Ekiteeso, kiwagiddwa abantu bonna ku lukiiko lwa CEC, era Ssaabawandiisi w’ekibiina Justine Lumumba Kasule alagiddwa okuyita ttabamiruka w’ekibiina kya NRM obutasukka November 2019, okuddamu okuteesa ku nsonga eyo.

Mu ttabamiruka ow’ennaku ettaano (5) ku Chobe Safari Lodge mu disitulikiti y’e Nwoya, eyakomekerezeddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, ensonga eyo bonna bagiwagidde.

Omwogezi w’ekibiina kya NRM, Rogers Mulindwa agambye nti Pulezidenti Museveni akoze bulungi nnyo okutambuza emirimu n’okulungamya eggwanga ne East Africa yonna era y’emu ku nsonga lwaki bakyamwetaaga.

Mungeri y’emu agambye nti wadde ab’oludda oluvuganya Gavumenti tebagala Museveni kuddamu kwesimbawo, tebayinza kweggyako muntu aleeta buwanguzi mu kibiina kyabwe ekya NRM.

NRM okomyawo Museveni mu kulonda kwa 2021, kabonero akalaga nti balina ekirubirirwa okuddamu okuwangula obukulembeze bw’eggwanga.

Eri bannayuganda abalowooza nti omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ayinza okuwangula obwa Pulezidenti mu 2021 singa yesimbawo, NRM okomyawo Museveni kikendeza emikisa gy’okufuna enkyukakyuka mu kulonda kwa 2021.

Museveni alina obukodyo obwenjawulo bwakozesa okuwangula obuyinza omuli okumatiza bannayuganda nti ye mutuufu agwanidde okuddamu okukwata obuyinza era y’emu ku nsonga lwaki ne Dr Kizza Besigye owa FDC akyalemeddwa okumuwangula wadde avuganyizza emirundi 4.