Emmese esanyalaza emirimu mu katale k’a Park Yard mu Kampala bweyingidde mu mpale y’omu ku basuubuzi.

Abasuubuzi basobodde okuyamba munnaabwe era bamwambudde empale, okumugyamu emmese ne bagita.

Abamu ku basuubuzi bagamba nti munnabwe ayinza okuba yalidde ebyennyanja kyokka neyerabira okunaaba mu ngalo, ekiwadde omukisa emmese okumuyingira munda.

Abamu bagambye nti, babadde balina okwanguwa okumutaasa kuba ebadde eyinza okuluma waaya, okusanyalaza essanyu ly’omu maka.

Bya Bukedde TV 1