Kyaddaki Dj Nimrod omukozi ku 100.2 Galaxy FM mu Pulogulamu Mid Morning Tukoone aleese bwiino lwaki Nuru Nabikolo amanyiddwa ennyo nga ‘Natie’ yanobye ewa Joel Isabirye.

Dj Nimrod agamba nti mu Uganda y’omu ku basajja  abategeera ensonga z’omu kisenge era y’emu ku nsonga lwaki yaweebwa erinnya lwa ‘Love Doctor’.

Omuwala Natie yaliko mukyala wa Dj Nimrod kyokka mu 2016, Isabirye yamubba ne bakola okukyala mu March wa 2017.

Mu kiseera kino Natie talina musajja kuba yasuddewo obufumbo bwa Isabirye akola guno na guli naddala mu by’okwebuuzibwako mu makampuni g’ebyempuliziganya mu ggwanga lino Uganda.

Wabula Dj Nimrod agamba nti yakimanyirawo nti Natie tayinza kuwangala ne Isabirye kuba talina ‘Work’ era y’emu ku nsonga lwaki afunye abakyala abenjawulo nga bageenda.

Agamba omukyala yenna okuwangala, olina okuba ng’omusajja otegeera ensonga z’omukwano, okulabirira omukyala mu ngeri zonna, Isabirye kyatalina, ekiwaliriza abakyala okunoba olw’ennyonta ya laavu.

Abamu ku bakazi Isabirye b’azze afuna wabula ne baawukana kuliko Rebecca Jjingo gwe yagattibwa naye mu December 2013 ne baawukana October 2014, Grace Sharon Naisamura, Ritah Kaggwa, Latifah Ssenyondwa, Lilian Mukasa, Lianne Nakaweesi n’abalala.

Natie ye mukazi nnamba 11 okufumbirwa Isabirye wabula nga baawukana mu ngeri ezenjawulo.