Omuyimbi Jose Chameleone ayanukudde muyimbi munne King Saha kubigambibwa nti yamuwandikira ennyimba omuli Valu Valu ne Badilisha era mbu y’emu ku nsonga lwaki akyavuganya mu kisaawe ky’okuyimba.

Kigambibwa King Saha yabadde ku ttiivi y’eggwanga eya UBC mu pulogulamu ekubirizibwa Calvin Da Entertainer, kwekutegeeza nti mu Uganda, awandikidde abayimbi bangi nnyo ennyimba omuli ne Dr Jose Chameleone.
King Saha agamba nti yandikira Chameleone ennyimba ezenjawulo omuli Valu Valu, Badilisha n’endala.

Wabula Chameleone amwanukudde mu bukambwe era agambye nti kyewuunyisa omuyimbi okusinzira ku Ttiivi y’eggwanga okusasaanya obulimba.

Chameleone agamba nti yewandiikira ennyimba ze era King Saha alina okukomya okulimba abantu nti yawandiika Valu Valu ne Badilisha kuba bimuswaza.

Ebigambo bya Chameleone, kabonero akalaga nti King Saha alina okumwetondera kuba ayinza n’okumutwala mu mbuga z’amateeka ssaako n’okwetondera abantu olw’okubalimba.

Eddoboozi lya Chameleone

Eddoboozi eryo lya ‘WOLOKOSO Mu Ug Extra’.