Nannyini kuleeta kirowoozo ekya ‘Miss Curvy” Ann Mungooma akulembeddemu abakazi ab’obubina banamudiguli okugenda ku Palamenti okusisinkana sipiika Rebecca Alitwala Kadaga ku nsonga z’okutekateeka empaka zaabwe.

Ku Palamenti, banamudiguli balaze eswagga era bagututte ng’omukisa okulaga ababaka ba Palamenti ebintu mu HD anti bonna bambadde obugoye obukwata obulungi omubiri.

Mu Palamenti, Mungooma awadde ensonga ezenjawulo lwaki bavuddeyo n’ensonga ezenjawulo okuteekawo empaka za Miss Curvy mu ggwanga lino Uganda.
Mungooma agamba nti empaka za Miss Curvy zigendereddwamu banamudiguli okwekiririzaamu n’okusiimibwa nga bwe guli mu mpaka za Miss Uganda.

Oluvanyuma lwa sipiika Kadaga okwekeneenya ensonga za Mungooma ne banne, awagidde entekateeka zonna eza Miss Curvy era abawagidde okugenda mu maaso n’emikolo gyaabwe.