Bad Black ng’amannya ge amatuufu ye Shanita Namuyimbwa sabiti ejja ku lunnaku olwokusatu nga 6, march, 2019, alina okweyanjula ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli.

Kigambibwa nti, Bad Black ng’ayita ku yintanenti, yalengezza omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu katambi keyeekwata nagamba nti, yamukaka omukwano n’amuzaalamu omwana.

Ku Mmande ya sabiti eno, nga 25, February, 2019, Bad Black yeyanjudde ku Poliisi e Kibuli era baamukunyizza okumala essaawa musanvu ku by’okuvvoola abantu abenjawulo omuli ne Pulezidenti ssaako n’okweyambisa ebigambo by’obuseegu ku mikutu gya yintaneenti.

Bad Black ekyamutwala ku Mmande kuba olunnaku olwaleero ku Lwokusatu nga 27, February, 2019, taliwo kuba yali ayitiddwa okweyanjula ku Poliisi olwaleero.

Ku Mmande, kamisona wa poliisi akola ku misango gy’amawulire (Media Crime) Henry Mugumya yabategezeza nti omuntu alina okukola ku musango gwaabwe taliwo era Bad Black ne Balooya be bakiriziddwa okuddayo ku Poliisi e Kibuli sabiti ejja ku Lwokusatu nga 6, March, 2019 okwanukula ku nsonga ezo.

Omuyimbi Bebe Cool alina oluyimba ‘AKamwako’, okutegeeza nti buli muntu bamulabira mu bigambo bye era mu kiseera kino ebigambo bye Bad Black y’emu ku nsonga lwaki alina emisango.

Mu nsi yonna abayimbi balaguzi kuba oluyimba AKamwako lutukiridde ku bantu abenjawulo.