Omuyimbi Fille Mutoni asemberedde okwegata ku kibiina kya Team No Sleep(TNS) okweggyako situleesi ya MC Kats.

Fille abadde alina MC Kats nga manejja we ate nga balina omwana ekiraga nti abadde yafumbira Kats.

MC Kats ne Fille
MC Kats ne Fille

Ku ntandiikwa y’omwaka 2019, Fille ne MC Kats bafuna obutakaanya ne baawukana era mu kiseera kino buli omu akola mirimu gye.

Wabula okusinzira ku mawulire getufunye, manejja Jeff Kiwa asemberedde okusayininga Fille mu kibiina kye ekya TNS okugatibwa ku bayimbi abalala omuli Sheebah Kalungi.

Amawulire galaga nti Jeff agenda kulangirira Fille mu butongole obutasukka sabiti eno.

Mu Uganda, Jeff Kiwa y’omu ku bamanejja abalungi mu kutumbula talenti z’abayimbi kyokka kigambibwa mbu abamu ku bakyala mu kibiina kya TNS, abafukirira ebitone byabwe.