Tamale Mirundi ayingidde mu nsonga z’omugagga Sulaiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga okulwanirira eby’obugagga bye.

SK Mbuga aggyiddwa mu kkomera e Dubai mu United Arab Emirates n’ayongerwayo mu Bulaaya e Denmark gy’anaawozesebwa emisango gy’okunyaga doola 2,600,000 mu ddiiru y’okuguza Abazungu zzaabu.

Mbuga, 36, amaze omwaka mulamba mu kkomera lya Al Awiir Central Prison e Dubai.

Mbuga ne mukazi we bavunaanibwa okunyaga ssente ku Muzungu okuva e Sweden era ze zaavaako okumukwata e Dubai.

Kigambibwa Muka Mbuga ayitibwa Angela Vivienne Chebet ye yanyaga ssente ezisukka mu buwumbi 23 obwa Uganda okuva ku muganzi we Omuzungu Sten Heinsoo era y’emu ku nsonga lwaki n’omukyala yakwattiddwa.

Tamale, SK Mbuga ne Vivienne
Tamale, SK Mbuga ne Vivienne

Wabula Tamale Mirundi agamba nti SK Mbuga y’omu ku basajja abalina omutima omulungi kuba asobodde okukola kyonna ekisoboka okuyamba abantu mu ggwanga lye mu ngeri ezenjawulo.

Tamale agamba nti kyewunyisa bambega aba ISO okuyingira mu nsonga za SK Mbuga ku misango gy’obubbi kuba tegibakwatako.

Mungeri y’emu agambye nti tewali muntu yenna akirizibwa kutunda bintu bya Mbuga nga talina lukusa okuva mu kkooti yonna okuva mu ggwanga erya Denmark kuba kimenya amateeka.

Tamale agamba nti omu ku banene eyali mu kitongole kya Poliisi ekya “Wembley” yakulembeddemu okunyigiriza SK Mbuga, omukyala n’okutunda ebintu bye kyokka asuubizza okubirwanirira.