• 378
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    378
    Shares

Emitima gimenyese abatuuze be Kabubu mu Monisipaali y’e Kyadondo East, mukwano w’omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bwe yakubiddwa ennyondo ku mutwe eyamuttiddewo.

Ssenyonjo Vicent abadde avuga bodaboda kyokka ababbi baamukubye ennyondo okutwala pikipiki, ekyembi yaafiiriddewo.

Olunnaku olw’eggulo, Bobi Wine y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kuziika Ssenyonjo era mu kwogera kwe yagambye nti omugenzi abadde mukwano gwe nnyo, mulonzi we kuba mu 2017 yakulemberamu kampeyini z’okunoonya akalulu e Kabubu mu kiseera nga noonya (Bobi Wine) akalulu.

Mungeri y’emu yasabye ekitongole ekya Poliisi okwongera amaanyi mu kunyweza ebyokwerinda ku byalo okusinga okulemesa abakulembeze ku ludda oluvuganya okwetaaya n’okwenyigira mu kusindikiriza abatuuze ku ttaka.

Bobi Wine era agambye nti abantu okukyusa obuyinza mu 2021, kye kigenda okuyamba, bannansi okuddamu okweyagalira mu ggwanga lyabwe mu ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni alemeddwa.

At the burial of my friend Ssenyonjo Vicent who was hit with a hammer by thugs and went away with his motor bike.

Posted by Bobi Wine on Wednesday, March 13, 2019


  • 378
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
    378
    Shares