Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kahompo mu ggoombolola y’e Bufunjo mu disitulikiti y’e Kyenjojo, abatemu bayingiridde amaka g’omusuubuzi ne batta baana bonna bataano (5) ate omukyala bamulese ali mu mbeera embi ku ssaawa 7 ez’ekiro.

Abaana abattiddwa kuliko Barbra Atuhairwe, 7, Oscar Alinganiza, 4, Linnet Ayinebyona, 3, Davis Tulinomugisha, 2 ne Abwooli mwezi gumu.

Okusinzira ku mukyala, abatemu baayingidde mu nnyumba nga bayita mu ddinisa nga banoonya bba omusuubuzi Tumwebaze Joseph.

Omusubuzi Tumwebaze yabadde agenze mu bitundu bye Kasese ku mirimu gye.

Omukyala agamba nti abatemu basse abaana n’okumukubakuba nga bwe babuuza bbaawe gy’ali n’okusaba ssente era oluvanyuma omukyala yatwaliddwa nasuulibwa ku “River Kawompo” nga balowooza afudde.

wabula abatuuze baasobodde okumutaasa era aweereddwa ekitanda mu ddwaaliro e Kyenjojo ng’ali mu mbeera mbi.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Rwenzori West, Lydia Tumushabe agambye nti Poliisi etandikiddewo okunoonyereza abatemu n’abasawo  baleeteddwa okwekebejja emirambo gy’abaana.

Ettemu eryo, lyakoleddwa mu kiro ekyakeseza olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna.