• 23
    Shares

Bya Nalule Aminah

Poliisi y’e Gulu etegeezezza omulamuzi wa kkooti esokerwako e Gulu Isaac Kintu nti si yeerina pickup ekika kya ‘Tundra’ ey’omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine nti kyokka erina Tundra ya muntu mulala gyekyaterese oluvannyuma lwebyo ebyali mu Arua omwaka oguwedde ogwa 2018 mu August.

Akulira okunonyereza mu kitongole kya Poliisi mu disitulikti y’e Arua Lusamba Davis yategeezeza omulamuzi ku nsonga eyo, ekitabudde Bobi Wine.

Tundra ya Bobi Wine
Tundra ya Bobi Wine

Ate Herbert Wanyoto akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu  West Nile abuulidde kkooti esookerwako e Gulu nti paasiwaadi eziri mu masimu g’abavunaanibwa ebyo ebyali mu Arua nzibu nnyo tebayinza kuzziggulawo ekivuddeko okunoonyereza okutambula akasoobo.

Omulamuzi Kintu alagidde ekitongole ekya Poliisi ne Gavumenti okwanguyiriza okunoonyereza, baleete alipoota ezikwata ku bintu byonna ebyawambibwa era omusango gwongezeddwayo okutuusa nga 4, July, 2019.

Oluvudde mu kkooti, Bobi Wine awakanyiza ekya Poliisi okutegeeza kkooti nti emotooka zaabwe tebazirina, agambye nti balina okuzimuddiza n’empeta ye ey’obufumbo, eyatwaliddwa abebyokwerinda.

Bobi era awakanyiza ne kya Poliisi okusaba kkooti nti bajiwe paasiwaadi ze simu zaabwe kuba alina obujjulizi nti essimu ye babadde bagikozesa okukubira aba Famire ne mikwano gye.

Eddoboozi lya Bobi Wine


  • 23
    Shares
  • 23
    Shares