Omuyimbi Fille Mutoni agudde mu ssente, bwayitiddwa okusanyuka abantu mu lukungaana lw’ekibiina ekigatta Bannayuganda abali mu Amerika ekya Ugandans living in North America Association(UNAA) mu kibuga New York city olwa 31.

Olukungaana lwakumala ennaku satu (3) okuva 30th August – 1st September, 2019, lubeerayo buli mwaaka.

Abalala abayimbi abayitiddwa mwe muli Geosteady, Chameleone ne John Blaq.

Fille gwe mulundi gwe ogusoose okuyitibwa mu UNAA oluvanyuma lw’okwawukana ne manejja we eyali bba MC Kats, ekiraga nti aka ssente ke aka “ddoola” agenda kukalya yekka, MC Kats takyalina mukisa gwonna.