Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alabudde omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanti Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ku byobufuzi.

Pulezidenti Museveni agamba nti Bobi Wine alina okusigala mu by’okuyimba kwe, okusobola okusanyusa abawagizi be.
Mungeri y’emu agambye nti eby’obufuzi ssi byakuyimba, ekiwadde abavubuka enseko okuva mu ggoombolola 5 ezikola ekibuga Kampala mu lukungaana olubadde Entebbe, Busiro.

Bobi Wine
Bobi Wine

Museveni era agambye nti yewuunya abalonzi okulonda Bobi Wine kuba muyimbi, Kato Lubwama owe Rubaga South kuba munnakatemba, naye bonna balina okukimanya nti bali mu byabufuzi.

Ebigambo bya Pulezidenti Museveni kabonero akalaga nti Bobi Wine alina okwegendereza ennyo ebyobufuzi mu Uganda naddala nga yesuunga okuvuganya Museveni ku bwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2021.