DJ Mimi okuva mu ggwanga erya Kenya abotodde ebyama lwaki Diamond Platnumz ayongedde okuwaamba mu kisaawe ky’okuyimba mu East Africa.
DJ Mimi agamba nti Platnumz asobodde okufuna abantu abenjawulo abasobodde okumwongerako okumanyika mu mawanga agenjawulo n’okusingira ddala abakyala.

Zari
Zari

Mu kwogerako naffe, DJ Mimi agambye nti Zari Hassan y’omu ku bakyala mu Uganda abalina abagoberezi era Platnumz yamwagala wadde yali mukyala mukulu okusobola okumanyika n’okufuna akatale mu Uganda wabula tewaliwo laavu yonna.

DJ Mimi
DJ Mimi

Mungeri y’emu agambye nti mu kiseera kino Platnumz ali mu laavu n’omuwala Tanasha Donna Oketch mu ggwanga erya Kenya kuba muwala mulungi, akola ku laadiyo, ayolesa misono, akuba obulango, ekigenda okuyamba nnyo Platnumz okwongera okumanyika mu Kenya yonna.

Tanasha Donna Oketch
Tanasha Donna Oketch

DJ Mimi agamba nti abakyala basobodde okuyamba Platnumz okwetunda mu kisaawe ky’okuyimba mu East Africa era tewali galanti nti ayinza okuwasa Tanasha wabula okumukozesa ye okutukiriza ebigendererwa bye mu kuyimba.