Mu Buganda, abantu balina enjogera nti omwana  bw’omunaaza olweza, mu bukulu afuna emikisa egyenjawulo omuli okufuna ssente.

Bwe kiba bwe kityo, omuyimbi Eddy Kenzo bba w’omukyala Rema Namakula yanaaba olweza.

Kalifah Aganaga
Kalifah Aganaga

Wosomera bino, Kenzo agudde mu ssente, omuyimbi munne Mukiibi Sadat amanyikiddwa nga Kalifah Aganaga bw’alangiridde nti 2021, Kenzo agenda kulemberamu kampeyini ze okumunoonyeza akalulu, “Eddy Kenzo to be my campaigning manager in 2021. He has confirmed that I have Stamina”.

Kato Lubwama
Kato Lubwama

Aganaga y’omu ku beesowoddeyo okuvuganya Kato Lubwama ku ky’omubaka bwa Palamenti obwa Lubuga South mu kulonda kwa 2021.

Mu mbeera eyo, Kenzo y’omu ku bayimbi abalindiridde okunoga ssente okuva mu nkambi ya Aganaga mu kampeyini za 2021.