Omuyimbi Big Eye kabuze katono akaabire mu maaso g’omusasi waffe bw’abadde alambulula engeri eyali mukyala we Nalongo Sheila Don Zella gye yali ayagala okumutta.

Big Eye agamba nti yalina obutakaanya n’omukyala Don Zella kuba yalina empisa embi kyokka mu kiro mu ttumbi nga yeebase, Don Zella yamugwa mu bulago okumutuga.

Big Eye
Big Eye

Wakati mu nnyike, Big Eye agamba nti Don Zella okumutuga yali yeyambisa essaati era yasobola okweyambisa amaanyi ng’omusajja okusimatuuka.

Mungeri y’emu agambye nti Don Zella yali mukyala mutemu nnyo kuba waliwo lwe yamukwata ebitundu by’ekyama era olw’obulumi amaanyi ne gamugwaamu n’asigala kutunula butunuzi.

Big Eye agamba nti wadde Don Zella mukyala mulungi nnyo, tayinza kumuddira kuba talina mpisa ate asukkiridde okuweebuula bazadde be.