Omuyimbi Jennifer FullFigure eyakuyimbira Mukyakale ne Pallaso alabudde muyimbi munne Sheebah Kalungi okukomya okwepikira ku Cindy Sanyu kuba amusiinga nnyo mu kisaawe ky’okuyimba.

FullFigure agamba nti abayimbi abato balina okuwa abayimbi abakulu ekitiibwa n’okukiriza okubayigiriza ebintu ebyenjawulo ebikwata ku ndongo.

Sheebah ne Cindy
Sheebah ne Cindy

Agamba nti tewali kubusabuusa kwonna Cindy y’omu ku bayimbi abakyala abasiinga okuyimba ‘Live’ ku siteegi ate Sheebah wa ‘CD’ era alina okukiriza Cindy amuyigirize okuyimba ‘Live’ kuba abantu bakooye ‘CD’.

FullFigure era agambye nti wadde Sheebah ne Cindy bonna bayimba bulungi ku siteegi, Sheebah alina okukimanya nti Cindy alina talenti eyenjawulo okuwa abantu essannyu ng’ali ‘Live’ ekimufuula ow’enjawulo ku bakyala abayimbi.