Kyaddaki Ssabavvulu Balaam Barugahare agambye nti ye mwetegefu okutekateeka ekivvulu wakati w’omuyimbi Sheebah Kalungi ne Cindy Sanyu, bannayuganda okulondako asinga okuyimba n’okukyamula abalabi.

Balaam agamba nti Sheebah ne Cindy bombi bayimbi balungi era balina ebintu bingi nnyo bye bafanaganya mu kisaawe ky’okuyimba.

Balaam Barugahare
Balaam Barugahare

1 – Okunama. Balaam agamba nti abayimbi bombi Sheebah ne Cindy bategeera kye bayita okunamira abadigize era kibafudde ab’ettutumu era ab’amaanyi mu kisaawe ky’okuyimba.

2 – Okwambala obulungi. Sheebah ne Cindy bonna bategeera kye bayita okwambala era singa ekivvulu kitegekebwa, abadigize bayinza okwegomba ennyambala yaabwe.

3 – Okuyimba obulungi. Balaam agamba nti abayimbi bombi bayimba bulungi era y’emu ku nsonga lwaki boogerwako mu kisaawe ky’okuyimba.

4 – Bonna Bakyala. Balaam agamba nti abakyala okuteekawo embeera bwetyo mu kisaawe ky’okuyimba, kabonero akalaga nti bakoze kyamaanyi nnyo okwongera omutindo gw’ennyimba zaabwe.

5 – Okukyamula Abalabi. Cindy ne Sheebah, bakozesa bulungi nnyo siteegi okuwa abadigize essannyu, ekiraga nti bonna bayimbi balungi.

6 – Okuzina. Balaam era agamba nti Cindy ne Sheebah bonna bakyala bategeera kye bayita okuzina ku siteegi, ekiraga nti singa bategeka ekivvulu, balina Work okuwa abantu enseko.