Omuyimbi Cindy Sanyu ayogedde ebintu bibiri (2) lwaki asinga Sheebah Kalungi okuyimba.

Cindy agamba nti Sheebah ayimba bulungi nnyo era akoze nnyo mu kisaawe ky’okuyimba kyokka alina bingi eby’okuyiga.

Agamba nti Sheebah muyimbi wa CD era buli muntu asobola okukikola wadde talina talenti kyokka alina okuyiga okuyimba ‘Live’ ku siteegi.

Cindy agamba nti Sheebah alina okukiriza nti alina obuzibu okusobola okukola ennyo okubulwanyisa kuba y’emu ku nsonga lwaki n’omwaka oguwedde ogwa 2018 mu konsati ye, abantu bangi baategeera obunafu bwe nti tasobola kuyimba ‘LIVE’ wabula ‘CD’.

Mungeri y’emu agambye nti wadde Sheebah alina ennyumba e Munyonyo, alina okukimanya nti bakyamukozesa wansi w’ekibiina kya Team No Sleep (TNS) era wansi wa manejja Jeff Kiwa kyokka ye (Cindy) alina buli kimu era yekozesa.