Poliisi y’e Kagadi ekutte musirikale munaabwe ku by’okabasanya omusibe omukyala

Omusirikale AIP George Kyuka akolera ku Poliisi y’e Kyenzige Police station mu ggoombolola y’e Kyaterekera mu disitulikiti Kagadi y’e yakwattiddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu Albertine Julius Hakiza, Kyuka akuumibwa ku kitebe kya Poliisi e Kagadi okuva lwe yakwattibwa nga 15th, March, 2019.

Hakiza agamba nti nga 12th, March, 2019, Kyuka yakwata omuwala myaka 18 (amannya gasirikiddwa kuba alina omwana mwaka gumu).

Omukyala lwe yakwatibwa, yatwalibwa ku Poliisi y’e Kyenzige.

Kigambibwa nga 13, March, 2019 omusirikale Kyuka yakima omusibe okuva mu Poliisi y’e Kyenzige namutwala mu kazigo ke namukozesa mu nsonga z’omukwano lawundi eziwerako ng’amusuubiza okumuggya mu kkomera.

Nga 15th, March, 2019, omukyala omusibe yaggula ku Kyuka omusango gw’okumusobyako era Poliisi etandiise okunoonyereza.