Kyaddaki omuyimbi Cindy Sanyu yewozezaako lwaki abayimbi bangi mu Uganda omuli ne Sheebah Kalungi ‘bugologoosi’ mu kisaawe ky’okuyimba.

Mu kiseera kino, lutalo lw’ebigambo wakati wa Sheebah ne Cindy lweyongedde nga kivudde ku Cindy okusaba Sheebah bakole ‘battle’ wakati waabwe.

Mungeri y’emu Cindy agamba nti Sheebah alina okukiriza nti alina obuzibu kuba tasobola kuyimba ‘LIVE’, muyimbi wa ‘CD’.

Cindy bwe yabadde ku NBS TV mu Pulogulamu ‘UNCUT’, yagambye nti abayimbi abamu omuli Sheebah bugologoosi kuba babakolera buli kimu omuli okubawandikira ennyimba, okuzitambuza mu bantu, ku Laadiyo ne Ttiivi, okubambaza engoye, okubasibisa enviri, okubazimbira ennyumba era manegimenti emirimu gye kola etwala ebitundu 90 ku 100.

Cindy era agamba nti abayimbi webatyo balina besigama ku maanyi ga manegimenti okusobola okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba.