Omuyimbi Roden Y Kabako atabukidde Cindy Sanyu okuwalampa muyimbi munne Sheebah Kalungi owa Team No Sleep (TNS) ate nga yali mukwano gwe nnyo.

Kabako agamba nti Cindy alina okukimanya nti mu kiseera kino Sheebah mazzi mawanvu nnyo mu kisaawe ky’okuyimba.

Mungeri y’emu Kabako agambye nti Cindy alina okukimanya nti eby’okuyimba ‘Live’ by’ayogerako si nsonga, ekikulu kunoonya ssente buli omu afune eky’okulya.

Wadde olutalo lw’ebigambo wakati wa Cindy ne Sheebah lugenda mu maaso, Kabako agamba nti Cindy alina okukimanya nti Sheebah y’omu ku bakyala abaliko mu kiseera kino era alina Cindy alina okumuwagira mu ngeri yonna okusinga okumulumbagana.