Poliisi mu bendobendo ly’e Masaka ekutte abantu 7 ku by’okuwaamba n’okutta omwana myaka 13 mu mu disitulikiti y’e Lyantonde.
Omwana Julius Amutuhairwe abadde asoma ku Kahangire Foundation Primary School mu kibiina eky’omukaaga (P6) yawambibwa nga 28, March, 2019, abawambi kwekusaba abazadde obukadde 30.
Poliisi egamba nti abazadde basabiddwa akakadde kamu (1,000,000) okubalagirira webaziika omwana wabula abazadde basobodde okusindiika emitwalo ataano (500,000) ku ssimu.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Lameck Kigozi, Poliisi esobodde okweyambisa ekitongole ekya flying squad okunoonyereza nga basinzira ku ssimu gye basindikidde emitwalo 500,000 era omusajja Seith Nasasira eyakulemberamu okutta nakwatibwa mu katawuni ke Lyantonde.
Mungeri y’emu agambye nti n’omukulu w’essomero erya Kahangire Foundation Primary School, Joshua Mugisha naye akwattiddwa oluvanyuma lwa Nasasira okumulonkoma nti yali mu lukwe lw’okuwaamba omwana.
Abalala abakwatiddwa kuliko Georgina Batamuliza, Nazario Baguma, Ramadhan Lubulwa, Gordon Birimumaaso ne Charles Ssenkukube okuyambako poliisi mu kuzuula ekituufu n’okunoonyereza.

Eddoboozi lya Kigozi