Omuyimbi Eddy Kenzo avuddeyo ku bigambibwa nti alina empisa embi mu kisaawe ky’okuyimba kuba tayagala kuwa kolabo bayimbi bannayuganda.
Kenzo bw’abadde ku 100.2 Galaxy FM, mu pulogulamu Xplosion ne MrHenrie Danson buli Lwamukaaga, agambye nti ayagala nnyo okukola kolabo n’abayimbi bannayuganda kyokka okutambula ennyo mu mawanga agenjawulo okunoonya ssente, y’emu ku nsonga lwaki tafuna budde.
Mungeri y’emu agambye nti “omuti tegusitukira nnyonyi”, abayimbi balina okumunoonya okusinga okulowooza nti yalina okubanoonya.
Kenzo era agambye nti okuwa omuyimbi yenna kolabo, alina okuba ng’agwanidde kuba asobodde okukolerera talenti ye.
Mu kiseera kino Kenzo alina kolabo n’abayimbi omuli Beenie Gunter ssaako ne B2C wadde bangi bayayana okufuna kolabo naye.

Eddoboozi lya Kenzo