Ng’abayimbi bangi batunulidde kwesoga byabufuzi mu kulonda kwa 2021, waliwo abayimbi abato abagututte ng’omukisa nabo okumanyika mu kisaawe ky’okuyimba.

Wosomera bino, waliwo omuyimbi aleese amaanyi okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba n’okuwangula ‘Award’ kuba alina talenti era yeyise Yung Marty.

Yung Marty afulumizza ekyasi ky’oluyimba ‘formular’ era alaze kye bayita talenti kuba alina ebigambo ebirungi, ebisikiriza buli muntu okuwuliriza oluyimba.