Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II avuddeyo ku binyigiriza abantu be mu bubaba bwe obwa Paasika.
Kabaka anokoddeyo ensonga ezenjawulo omuli obulyake, obutasoma n’okuyigganyizibwa okukolebwa ku abo bonna abalwanirira eddembe lyabwe mu byobufuzi, ebyenfuna n’ensonga endala.
Obubaka bwa Bbeene mu bujjuvu

“Tuyozaayoza abantu ba Katonda mwenna okutuuka ku Mazuukira g’omwaka guno. Twebaza Mukama olw’ekisa kye ekitusobozesezza okubeera abalamu n’okwongera okumutendereza buli bbanga. Tutuuse ku Mazuukira g’omwaka guno nga waliwo bingi bye twebalizaako Katonda. Ate waliwo n’ebirala bye tumusaba atusaasire tubivvuunuke mu mirembe. Tusaba Omukama atwongere okunyweza obumu mu Bwakabaka ne mu Uganda yonna. Amazuukira gatuyambe okwefumiitiriza ku nsonga y’okubonaabona kw’Omulokozi. Ate naffe kituwe okwebuulirira ku ngeri gye tweyisaamu mu bantu bannaffe, n’okukkiriza okubonabona n’okwewaayo ku lw’abalala, naddala be tuweereza. Buli lwe tujjukira Amazuukira g’Omulokozi, tujjukira okununulwa kwaffe mu buli mbeera. Kye tuva tukubiriza abantu baffe naddala abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo ensonga y’okununulwa n’okununula abo bonna be bakulembera okuva mu bwavu, obulyake, obutasoma n’okuyigganyizibwa okukolebwa ku abo bonna abalwanirira eddembe lyabwe mu byobufuzi, ebyenfuna ne mu bulamu obwabulijjo. Tusabe nnyo Omukama, atuyise mu kyeya kye tulimu kati era tukubiriza abantu baffe okubeera obulindaala okusinga awo we kyetaagisiza. Tubaagaliza Amazuukira ag’essanyu n’emirembe”.

Ronald Muwenda Mutebi II

KABAKA.

Ekiwandiiko kya Kabaka