Lydia Jazmine alaze nti y’omu ku bayimbi abakyala abalina ‘Work’ wadde talina musajja amanyikiddwa mu kiseera kino.
Abamu ku bannayuganda balina endowooza nti Jazmine ne Eddy Kenzo baagalana kyokka tewali bukakafu bwonna.
Mu mbeera eyo, Jazmine alaze nti ebigambo tebiyinza kumuggya ku mulamwa era asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okutunda oluyimba lwe ‘WANKOLERA’ kyokka bangi ku bawagizi be bavudde ku luyimba ne badde ku nyambala ye.

Abamu bagambye nti, Jazmine alabika bulungi nnyo era engeri gy’ayambala, alina ekigendererwa eky’okusabbalaza abasajja abenjawulo omuli ne Kenzo wadde alina omukyala.