Munnamateeka w’omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) Asuman Basalirwa, Mukyala wa Bobi Barbie Itungo bebamu ku b’abadde ku kkooti ya Buganda Road mu kiseera nga Bobi Wine asindikibwa ku Limanda mu kkomera e Luzira.

Bobi Wine mu kkooti
Bobi Wine mu kkooti

Bobi Wine yasindikiddwa ku Limanda okutuusa nga 2, May, 2019 ku misango gy’okukuba olukungana mu ngeri emenya amateeka mu July wa 2018 n’okunga bannansi okugyemera okuwa omusolo ogwa Mobile Money.

Omulamuzi Esther Nahirya
Omulamuzi Esther Nahirya

Yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Esther Nahirya oluvanyuma lw’okukwatibwa ku Mmande bwe yabadde agenda ku kitebe kya bambega e Kibuli okweyanjula ku misango gy’okugyemera Ssaabaduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola n’okunga bannansi okwekalakaasa olwa Poliisi okuyimiriza ekivvulu kya ‘Kyarenga Extra concert’ ku Easter Monday.

Wabula bwe yabadde alinye kosita y’ekkomera okutwalibwa e Luzira wakati mu byokwerinda, Bobi Wine yagambye nti, “Mugume Tuliyambala Engule nga Tuwangudde” wakati mu kuwanika ekikonde mu bbanga wadde omukono gwe ogumu gwabaddeko empingu.

Abamu ku bawagizi ba Bobi Wine bamugumizz nti wadde bamutulugunya, 2021 balina okumulonda nga Pulezidenti waabwe.