Omuyimbi Eddy Kenzo akoledde mukyala we Rema Namakula akabaga k’amazaalibwa okulaga nsi nti ye mukyala yekka ali ku mutima gwe wadde ebigambo byogerwa nti balina obutakaanya mu laavu yaabwe.

Rema abadde ajjaguza okuweza emyaka 27 era akabaga kabadde ku Spectrum ne basala ne keeki nga bali ne mikwano gyabwe emitonotono egitalina lugambo.

Rema ne Kenzo wakati mu mukwano, bwe baavudde ku Spectrum, baagenze ku Pearl of Afrika hotel e Nakasero okulya obulamu sabiti ewedde ku Lwokusatu ne mikwano gyabwe era oluvanyuma balabiddwako nga bombi bagenda mu maka gaabwe e Seguku.

Kigambibwa, Kenzo yakoze akabaga okulaga Rema nti wadde ebigambo byogerwa, ye mukyala eyamuzaalira omwana  Amaarl era ebigambo by’abantu tebiyinza kubaggya ku mulamwa gwe baliko.