Kyaddaki mukyala wa Paasita Aloysious Bujingo, Teddy ayogedde amazima lwaki bba alemeddeko okwawukana naye wadde balina obufumbo bw’empeta.

Teddy agamba nti Paasita Bujingo alina omukyala omulala, gwe yazimbira amaka mu bitundu bye Nansana era y’emu ku nsonga lwaki ayagala asatulule obufumbo bwabwe, asobole okuddamu okuwasa.

Paasita Bujingo ne Teddy
Paasita Bujingo ne Teddy

Omukyala Teddy agamba nti bba Bujingo yasooka kugoba muwala we Doreen mu kkanisa n’addako ye oluvannyuma lw’okumukuba mu kkooti nga baagala okubaako abamu ku basumba be bagoba mu kkanisa.

Wabula kigambibwa nti mukyala wa Paasita Bujingo omuggya ye Susan Nantaba era mbu baludde nga baagalana.

Mungeri waliwo amawulire getufunye nga Paasita Bujingo bw’atekateeka okumukuba embaga era y’emu ku nsonga lwaki alemeddeko okusatulula obufumbo bwe n’omukyala Teddy gw’alinamu baana bana (4).

Ekifaananyi kya Bukedde