Zari Hassan y’omu ku bakyala abasanyufu mu kiseera kino oluvanyuma lwa ssenga omukugu mu nsonga z’amaka Justine Nantume okumukyalirako mu maka ge e South Afrika.

Nantume amanyikiddwa okusomesa abakyala ensonga ezenjawulo ezikwata ku by’omu kisenge omuli okuwa omusajja essanyu, okwongera ku bungi bw’amazzi g’ekikyala, engeri y’okuwa omusajja ekitiibwa, okumusanyusa mu kaboozi, okuwangaza obufumbo, eddagala ly’okufunza vuvuzera n’ensonga endala era kigambibwa Zari bamuwaddeko erimu.

Nantume ne Zari
Nantume ne Zari

Nantume n’omuyimbi Maureen Nantume babadde balina ekivvulu mu ggwanga eryo era kigambibwa Zari yakozeseza omukisa ogwo okwebuuza ku Ssenga Nantume engeri gy’ayinza okuwangaza omusajja omupya gwe yafunye okudda mu bigere bya Diamond Platnumz.

Ssenga Nantume, Omuyimbi Nantume ne Zari
Ssenga Nantume, Omuyimbi Nantume ne Zari