Ebifaananyi ebifuluma buli lunnaku nga Eddy Kenzo ali n’omuyimbi Lydia Jazmine biraga nti ababiri abo baaliko mu laavu bombi oba omukwano gwabwe gukyagenda mu maaso.

Buli lunnaku ebigambo byogerwa nti Kenzo ayagala Jazmine kyokka wadde tewali bukakafu mu kiseera kino, mukyala wa Kenzo, Rema Namakula ali mu buzibu kuba ebifaananyi biraga nti bba alina enkolagana ey’amaanyi ne Jazmine era ng’omukyala alina okweralikirira.

Ebifaananyi nga Kenzo ali ne Jazmine kirabika bikadde nnyo wakati w’emyaka 2 – 7 kyokka bitandiise okuvaayo okulumya Rema omutwe okulaga nti bba amwendako.
Mu ngeri y’emu, ebifaananyi ebyo biraga nti Jazmine abadde mukwano gwa Kenzo nnyo mu kisaawe ky’okuyimba okuva emabega era abantu balina okukomya okugamba nti ali mu laavu ne Kenzo.

Wabula jjukira enjogera egamba nti ‘awali omukka tewabula muliro’, abantu okugamba nti Kenzo ali mu laavu ne Jazmine toyinza kukibuusa maaso wadde mu kiseera kino tewali alina bwiino yenna nti beekuba amatooke.

Embeera eriwo wakati wa Kenzo ne Rema, kye bayita okusomozebwa okw’amaanyi eri abaagalana.