Poliisi mu Kampala eriko omukazi gwe kutte nga ono emulanga kubbira bantu mu hotel ne bbaala ez’amannya ng’akozesa kalifoomu.

Aine Mbabazi Jackie yakwattiddwa mu bitundu bye Kisaasi ku misango gy’obubbi era olunnaku olwaleero asuubirwa okumutwala mu kkooti.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala Patrick Onyango, Mbabazi abadde atambula ne kalifoomu mu nsawo ye nga singa omusajja yenna amwegwanyiza namutwala awaka, amukuba kalifoomu nga yebase nakubira mikwano gye essimu ne baleeta emmotoka, ne babba ebintu byonna mu nju.

Onyango agamba nti singa Mbabazi omukwanira mu bbaala, abadde ateeka kalifoomu mu by’okunywa, okusobola okubba ebintu by’omusajja byonna omuli ssente era abadde ayigibwa abasajja abasukka mu 10 nga batwala okwemulugunya kwabwe ku Poliisi.