Omuyimbi John Blaq alaze nti mu kiseera kino akwatiridde ekisaawe ky’okuyimba kuba ennyimba ze olw’eddoboozi, abantu bangi nnyo zibanyumira.

John Blaq bw’abadde akwata vidiyo y’oluyimba ‘Do Dat’, ebyana bimulaze kye bayita emibiri era bambi asabbaladde nawuunga ng’ali wakati mu bithambi ebyamyuka.

Vidiyo esuubirwa okufuluma essaawa yonna era bangi ku bawagizi ba John Blaq bagyesunga nga mbaga.


Mu kiseera kino John Blaq alina ennyimba ezenjawulo omuli Obubadi, Makanika n’endala ezimufudde ow’enjawulo mu kisaawe ky’okuyimba.

View this post on Instagram

Coming Sooooon #DoDat @aaronaire_on_set

A post shared by JOHN BLAQ 🇺🇬 (@johnblaqofficial) on