Kyaddaki Paasita Wilson Bugembe avuddeyo ku bigambibwa nti alina omukyala n’omwana kyokka alemeddwa okuwayo obuyambi.

Omukyala Aidah Nalweyiso yatadde akatambi ku mutimbagano gwa yintaneeti ng’alumiriza paasita Bugembe okumuzaalamu omwana kyokka alemeddwa okumuwa obuyambi ate ng’omwana yetaaga eby’okulya. Nalweyiso agamba nti asabira mu kkanisa ya Paasita Bugembe okumala emyaka egiwera.

Ku nsonga eyo, Paasita Bugembe bw’abadde awayamu naffe, asekeredde Nalweyiso okugamba nti alina omwana we.

Paasita Bugembe agamba nti talina mukyala wadde omwana kyokka Nalweyiso okuvaayo tekimwewuunyisa kuba alina abantu bangi nnyo abamulwanyisa n’ekigendererwa eky’okutattana erinnya lye.

Ebigambo bya Nalweyiso, Paasita Bugembe asigadde mu ssanyu kuba agamba nti kabonero akalaga nti abantu bangi nnyo abalina ebizibu era nga betaaga okusabirwa.

Eddoboozi lya Paasita Bugembe