Kyaddaki Poliisi eyimbudde omukyala Nabweteme Noeline eyali alumiriza omuyimbi George William Kigozi amanyikiddwa nga Geosteady okumuzaalamu omwana kyokka nagaana okumuwa obuyambi.

Nabweteme yali yakwatibwa ku Poliisi y’e Katwe ku misango gy’okuwa Poliisi amawulire g’obulimba ku bigambibwa nti omwana we, yali wa Geosteady kyokka ng’amannyi bulungi taata w’omwana we.

Patrick Onyango
Patrick Onyango

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Geostedy okuggya enta mu musango y’emu ku nsonga lwaki Nabweteme yayimbuddwa.

Onyango agamba nti Geostedy yategezeza Poliisi nti Nabweteme amusonyiye era Poliisi yabadde erina okumuyimbula okuva mu kkomera.

Eddoboozi lya Onyango