Abatuuze mu ggoombolola y’e Kichwamba mu Disitulikiti y’e Kabarole baguddemu ekiyongobero, ababbi we bakubye owa bodaboda akatayimbwa ne bamutta n’okutwala bodaboda ye.

John Bagonza myaka 21 yattiddwa era omulambo gwe, gusangiddwa ku kyalo Kanoni Apollo cell mu Town Council y’e Karago nga guliko ebiwuundu ku mutwe, lubuto n’emikono.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Rwenzori West, Lydia Tumushabe tebanakwata muntu yenna, bodaboda y’omugenzi namba UEO 657V yatwaliddwa era Poliisi etandiise okunoonyereza.