Poliisi etandise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa e Zzana mu disitulikiti y’e Wakiso, mwebattidde abantu babiri ababadde bakola ku Mobile Money.

Abattiddwa kuliko Harriet Naluwadde myaka 33 wamu n’omuwala gw’abadde akola naye Moreen Nakabugo myaka 25 era bonna baakubiddwa amasasi agaabatiddewo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, ttiimu y’abasirikale abakugu basindikiddwa e Zzana okunoonyereza ku ttemu eryo.

Mungeri y’emu agambye nti abatemu baatutte ssente ezitamanyiddwa muwendo era byonna Poliisi erina okwongera okubinoonyerezaako.

Abatuuze bagamba nti abatemu, baabadde ku pikipiki era poliisi egamba nti babadde bataano (5).