Zari Hassan alaze eyali bba Diamond Platnumz nti alina omuchuzi okusinga ku muganzi we Tanasha Donna munnansi wa Kenya bw’akubye ‘Dance’ wa kokoonyo ku luyimba olusinga okumunyumira olumanyiddwa nga Boasty.

Oluyimba Boasty lwayimbibwa Wiley, Sean Paul ne Idris Elba era Zari wakati mu kuwomerwa eby’okulya, alaze ensi n’okusingira ddala Platnumz nti ategeera kye bayita okusala ‘Dance’ okusinga ku Tanasha.

Zari ku myaka 38 n’abaana bataano (5), alabika bulungi nnyo olw’endabika ye kuba yeetekamu ssente okukuuma omubiri wadde alina ebirowoozo ng’omuntu omulala yenna.